KASASIRO MU KAMPALA: KCCA eri mu kattu, e Kiteezi wajjudde
Abakulu mu kitongole ekiddukanya ekibuga Kampala aba KCCA bagamba nti bali munteekateka za kunoonya musiga nsimbi oba ensimbi zennyini okutandika okukola ebintu ebirala gamba nga amasannyalaze mu kasasiro mu bitundu bye Kiteezi oba ne Ddundu gyebateekateeka okutandika okuyiwa kasasiro.Bano okwogera bino nga ebitundu bingi mu Kibuga Kampala bijjudde kasasiro ku nguudo era nga tutegeezeddwa nti emmotoka za KCCA n’ebitongole ebirala ebikungaanya kasasiro bisanga obuzibu okutwala kasasiro e Kiteezi olw’ekifo ekyo okujjula.