Eyakubwa amasannyalaze ga UMEME taliyirirwanga kyokka UMEME egenda
Waliwo family y’omwana eyakubwa amasannyalaze oluvannyuma lw’omuti gwa UMEME okusinduka ne gugwa ne gamwokya ekyamuviirako n’okufuna obulemu. Family eno eraajana oluvannyuma lwa UMEME okukandaalirira okubasasula ensimbi obukadde bitaano (500m) kkooti ze yalagira ekitongole kibasasule ng'engassi olw’okulagajjalira emirimu gyayo. Abazadde batya nti ekitongole kya UMEME essaawa yonna kiggalwawo. Kyokka UMEME egamba ensonga zikyali mu kkooti oluvannyuma lw’okujulira ensalawo y’omulamuzi naye neetegevu okutuukiriza obuvunaanyizibwa singa gugisinga.