ETTEMU E JINJA: Eyasse mukazi we, poliisi emaze n’emugalira
Omusajja avunaanibwa okutta mukazi we nagezaako okumuziika mu kinnya e Jinja, amaze natwalibwa mu kaduukulu ka poliisi. Moses Tenywa eggulo yabadde mu ddwaliro gye yabadde atwaliddwa okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw'okusangibwa ngaliko eddagala lyanwedde kati ekizuuse nti bwabadde butwa.