ETTAKA LY’EGGOMBOLOLA ERYADDIZIBWA BUGANDA: Minisita Mayanja agamba kyakolebwa mu bukyamu
Minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja agamba nti ettaka okuli ebitebe by’amasaza n’eggombolola ebyaddizibwa Buganda yali nsobi kubanga ettaka lino likyatwalibwa ng’erya gavumenti. Mu 2013, gavumenti eyawakati yatuuka ku nzikiriziganya ne Buganda okugiddiza ebyapa ebiwerera ddala 213 eby’ettaka okuli ebitebe by’amasaza n’eggombolola za Buganda, wabula minisita Mayanja agamba nti eno yali nsobi. Mayanja abadde Bukalasa ng’aggulawo ekimeeza eky’ennaku ssatu abakungu okuva mu ministry y’ebyettaka mwe bagenda okuwuliriza okwemulugunya kw’abantu ku ttaka n’okutereeza ezimu ku nsobi.