Ettaka lizzeemu okuyiigulukuka e Bududa
Okuyigulukuka kw’ettaka e Bududa kulese ebirime by’abantu nga bisanyiziddwawo sako n’amaka agasoba mu kikumi nga golekedde okusanyizibwawo singa abantu abaliwo tebasengulwa nga bukyali. Emiruka ena mu gomolola ye Bulucheke abaayo bali ku bunkenke, era nga wetwogerera ettaka likyagenda mu maaso n’okuyigulukuka mu bitunud bino. Abakulembeze mu kitundu kino bagamba batandise okukubiriza abantu okwamuka ekifo kino mukawefube w’okwetangira ekiyinza okuddirira.