ENZIRUKANYA YA KCCA :Ababaka ku kakiiko ka COSASE baliko bye bazudde mu kulambula
Akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti ebyenjawulo kasiibye kalambula ebifo ebyenjawulo ebiddukanyizibwa KCCA, mwekaziilidde nti waliwo ebintu ebisasaanyizibwako ssente z'omuwi w'omusolo wabula nga tebituukiriza bigendererwa bya byabyo Mu kulambula kuno akakiiko kazudde ekizimbe okwali eddwaliro lya KCCA omuntu ssekinoomu kye yafunako liizi wabula oluvannyuma n'akitundu mu lukwesikwesi.