ENVUMBO KU BAKUNGU BA GAVUMENTI: Minisita Okello Oryem ayanukudde America ku Byabashaija
Gavumenti ya Uganda eguggumbudde eya America ku nvumbo gyeyayongedde okuteeka ku bannayuganda naddala abo berowooza nti bawagira etteeka ku bisiiyaga saako n'okwenyigira mu bikolwa ebirala eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu.Minisita omubeezi ow'ensonga ez'ebweru Okello Oryemu agamba nti ekyakoleddwa America kikyamu .Gavumenti y'amerika yafulumizza ekiwandiiko ekikyakasembayo nga kiraga nga akulira amakkomera Johnson Byabasaija bwali omu ku abo abateekeddwako envumbo zino.