ENTE EZIBOYEBWA KU BALAALO: Waliwo ezitandise okubula
Ng’abebyokwerinda bakyagenda mu maaso n’okutuukiriza ekiragiro kyokubowa ente ezitaayaya ez’abalaalo mu mambuka ga Uganda , ate waliwo ezimu ku zoboyebwa ezibuze. Kino kireeseewo obweraliikirivu nti kyandireetawo obukuubagano wakati w’abannanyini Nte n’ab’eby’okwerinda.