ENTAMBULA Y’OKUMAZZI: Ab’okumwalo e Bussi bali bubi
Abantu abawangalira ku kizinga ky’e bussi baagala gavumenti etuukirize obweyamu bwayo okubawa ekidyeri kibayunge kulukalu nga bwekiri ku balala . Omwaka oguwedde gavumenti yagula ekidyeri ekirala okutambuza abantu okuva e’nakiwogo okutuuka e Buwaya era nesuubiza nti yakuddabiriza ekikadde ekiwe ab’ebussi wabula negyebuli eno tekikolebwanga era kitandise okuvundira ku mwalo. Embeera abantu gyebatambulira mu Ssinungi.