Ensonga za Eddie Mutwe zireeteddwa mu palamenti, abakulu bazeebalamye
Ensonga z’okuwamba n’okutulugunya Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe leero zituuse mu Palamenti, akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi bwasabye ba minisita bekikwatako okubaako kye bakola ku nneeyisa y’omuduumizi w’amagye Gen. Muhoozi Kainerugaba.
Kyokka ba minisita abakwatibwako ensonga eno balabise nga ensonga eno tebaagala kugyanganga butereevu. Olwokuba nti esonga za Ssebuufu ziri mu kkooti, Sipiika Anita Among agisabye okuzikolako mu bwangu, ono asobole okufuna obwenkanya.