ENKOLAGANA YA DP NE NRM : DP eyise olukiiko lwa NEC, waliwo abakukkuluma
Olukiiko olufuzi olw'ekibiina ki Democratic Party Luyitiddwa okutuula ng'endagaano y'enkolagana wakati w'ekibiina kino ne NRM yemu ku nsonga eziri mu mwanjo Kyokka olukiiko luno lugenze okuyitibwa nga waliwo bannakibiina abaabadde basabye obukulembeze bw'abwe okutuuza akakiiko k'ekibiina akayitibwa Nationala Council okwogera ku nsonga z'ezimu Bano bagamba nti olutuula lwa NEC terugenda kugonjoola nsonga zaabwe kuba lutuulako abantu balubatu abali mu nkwawa za Pulezidenti w'ekibiina ate gwebeemulugunyako.