ENKOLA YA FEDERO: Katikkiro agamba y’ejja okutuusa obuweereza
Katikkiro Charles Peter Mayiga akakasizza ba nnakyaggwe nga Buganda bwekyettanira okufuna enkola ya Federo okusobola okutuusa empeereza ey’omulembe ku bantu baayo. Ono olwaleero abadde akwasa obukulembeze bwe ssaza Kyagwe e Ngabo y’obuwanguzi bw’empeereza eyasinga omwaka oguwedde. Bino bibadde ku kitebe kye ssaza mu Ggulu e Mukono.