ENKAMBI Y’AMAGYE E KABAMBA: Ababaka bakizudde ng’erimu ku ttaka lyayo tekuli byapa
Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’okwerinda bakizudde nga ettendekero ly’amagye ery’e Kabamba teririna biwandiiko ebiraga obwannannyini ku kitundu ekimu eky’ettaka kwe litudde ekiyinza okuleetera gavumenti okufiirizibwa ensimbi eziwera.Beeraliikiridde n’olwembeera ettendekero lino gye lirimu ng’ate waliwo enteekateeka y’okulisuumuusa.