Enguudo eziri mu mbeera embi, ababaka ba NUP baakwongera okussa gav’t ku nninga ezikole
Ababaka ba Palamenti bannakibiina ki National Unity Platform bagamba nti mu kisanja ekijja baakuteeka nnyo gavumenti ku ninga ekole ku nguudo ezikandaaliridde, gamba nga oluva e kyapa okutuuka e Kasensero ku mwalo mu disitulikiti ye Kyotera.Okwetema bino,babade ku mukolo ogutegekeddwa omubaka we Kakuuto Geofrey Lutaaya nga asiima abantube olwokumuwagira.