ENGUUDO E CONGO: Aba Dott Services boogedde we batuuse
Kkampuni ya Dott services eyapatanibwa okukola enguudo mu ggwanga lya DRC egamba nti mu bbanga lya myaka ebiri oluguudo oluva e Kasindi okuda e Beni lujja kuba luwedde, nga luno lujja kuyamba okutumbala eby’obusuubuzi wakati wa Uganda ne DRC. Oluguudo olwogerwako lwa kiromita 80. Bano bagamba nti sipiidi kwebatambulira evudde ku bukuumi bwebafuna okuva eri UPDF.