ENDWADDE Z’OBWONGO: Aba minisitule y’eby’obulamu bagamba zeeyongedde
Kitegeerekese ng’endwadde z'obwongo bwe zeeyongedde mu ggwanga wadde ng'obunene bw'ekizibu kino tebumanyiddwa bulungi. Okusinziira ku bakulu mu misitulule y'ebyobulamu embeera eno eyongedde n'okusajjulwa ebbula ly'abasawo abajjanjaba endwadde z'obwongo.