EMPAKA ZA NETBALL: Eza liigi y’eggwanga ziddamu lwamukaaga
Ekitundu ekyokubiri ekya liigi y’okubaka kitandika wiiiki eno ku Lwomukaaga nga bannantameggwa ba liigi aba National Insurance Corporation be bamu ku bali obulindaala okulaba nga beeyongera okukola obulungi. NIC yamalako ekitundu kya liigi ekyasooka nga tekubiddwamu era omutendesi Ali Mugisha agamba baluubirira kweddiza kikopo.