Empaka za CECAFA ez’omwaka guno ziri Tanzania
Amawanga kumi gegakakasiza okwetaba mu mpaka za CECAFA ez'abavubuka abali wansi w’emyaka amakumi abiri n'ez'abavubuka abali wansi w’emyaka ekumi n’omusanvu nga zonna zakuzanyibwa nga omwaka gunno tegunagwako. Wabula zo empaka za CECAFA senior Challenge cup ez’omwaka guno kikakasiddwa nti sizakuberayo wabula nga waliwo essubi ely’okuzitegeka omwaka ogujja mu mwezi gw’okuna.