EMPAKA Z’OKUBAKA: NIC yeetise eza East Africa Netball Club Championships
Tiimu ya National Insurance Corporation yeddiza ekikopo ky'empaka za East Africa Netball Club championships oluvanyuma lw'okukuba KCCA Netball Club ne goolo amakumi anna munya ku assatu mu tanno mu muzannyo ogwakamalirirzo ogubadde ku Kamwokya Community Center. Empaka za basajja nazo ezibadde zigenda mu masso mukisera kyekimu ziwanguddwa tiimu ya Kampala University.