EMPAKA Z’EBIKONDE: Musa Bwogi, David Ssemujju ne Catherine Nanziri enkya bali mu nsiike
Enguumi yakuddamu okunyooka olunaku lw’enkya ku kisaawe kya Philip Omondi stadium e Lugogo nga Shadir Musa Bwogi , David Semujju ne Cathrine Nanziri bazannya ebikonde ebisokede ddala mu mutedera ogw’okuzanyira ensimbi oluvanyuma lw’okwabulira ttimu y’eggwanga gyebuvudeko. Bano n'abalala bakutunka mu nwana munaana nga biri kuzo za lawundi mukaaga ate endala bazannye lawundi nnya.