EMPAKA Z’ABABAKA BA EAST AFRICA: Omupiira wakati wa Uganda ne South Sudan tegubaddewo
Uganda etandise na buwanguzi mu mpaka z’emizannyo eza palamenti z'amawanga ga East Africa bwewangudde Kenya ne muzannyo gwa Volleball ow'abakyala Wabula omupiira gwebabadde balina okuzanya ne South Sudan guyiise oluvanyuma lwa South Sudan okwemulugunya ku babaka ba Uganda nga ebadde eyagala kwekenneenya paasipoota zaabwe sso nga yo Uganda ekalambira nti amateeka gagamba kukozesa biwandiiko ebyabaweereddwa oba accreditation tags.