EMMEERI MV PAMBA: Okugitongoza kwa kuwewula ku kusaabaza eby’amaguzi
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja atongozza emeeri MV Pamba egenda okusaabaza eby’amaguzi okuva mu Uganda okugenda mu e Tanzania ne Kenya n’okudda. Pamba yali yakomawo okukola emyaka 17 egiyise. Nabbanja abuulidde abasuubuzi okwetannira okutambuliza ebintu byabwe ku mazzi basobole okukendeeza ku bisale eby’entambula .