EMIVUYO MU NSSF :Akakiiko kazudde ebirala ebirumira
Akulira olukiiko olufuzi olw'ekitongole kya NSSF ekitereka ensimbi z'abakozi Peter Kimbowa awakanyizza nga bwatalabanga ku nteekateeka yonna ey'ensimbi obuwumbi omukaaga Minisita w’ekikula ky'abantu zeyasaba okusobola okwongera okumanyisa ekitongole kya NSSF mu bantu.Kimbowa mu kusooka yategeezezza akakiiko nti olukiiko olufuzi lwagaana okukkiriza okuyisa ssente zino nga tewali ntekateeka nnungamu.Wabula ababaka ku kakiiko kano akanoonyereza ku mivuyo egiri mu NSSF bamuwemukidde bwebategeezezza nga bwebalina likoda ya palamenti nga Minisita w'ekikula ky'abantu Beti Amongi ategeeza nga ssente zino bwezaayisibwa. Waliwo n'omu ku babaka ba bakozi ategeezezza akakaiiko nga eyali akulira ekitongole kino Richard Byarugaba bweyali asaana okuba nga yava dda mu kitongole ekyo.