Emisinde gy’okwetooloola ebyalo gigenda kuyindira Tororo
Abaddusi okuva e Tanzania, Djibouti ne South Sudan baatuuse dda kuno okwetaba mu mpaka z’emisinde eza National Cross Country Championship ezigenda okubeEra e Tororo ku Lwomukaaga olw’okwosa enkya. Mu mpaka zino era mwe munaalondebwa ne ttimu erikiikirira Uganda mu mpaka eza Africa Cross Country ne World Youth Championships .