EMISANGO KU BALI MU MAKOMERA: Sheikh Kamoga: "Gavumenti eyanguwe okunoonyereza"
Ab'omuzikiti gw'e Nakasero basabye Gavumenti eyanguye okunonyereza kwayo ku basiramu banabwe abali mu makomero kumisango egyitali gyimu naddala egy'obutujju, okuliyirira famire z'abatttibwa n'abateberezebwa okuba abazi b'emisango abateebwa nga batulugunyiziddwa.
Amir Umar w'omuzikiti guno Sheikh Yunus Kamoga yakulembeddemu okusaala wali mu kisaawe kya Nakivubo blue ng'era akubiriza abasiramu okubeera obumu.