EMISANGO GY’EBYOKULONDA: Kkooti egobye ogwawawabirwa Joel Ssenyonyi
Kkooti enkulu mu Kampala egobye omusango gw'okulonda ogwawaabwa Mukesh Shukla nga awakanya obuwanguzi bwa munna NUP Joel Ssenyonyi ku kifo ky'omubaka wa Nakawa West. Ono yali ayagala Ssenyonyi aggyibwe mu palamenti nga amulanga okwekobaana n'akakiiko k'eby'okulonda nebakola emivuyo mu kalulu. Omulamuzi Isaac Muwata talabyewo bujulizi buyinza kuluma Ssenyonyi bw'atyo omusango n'agugoba n'alagira ne Shukla okuliyirira munne gweyawaaba.