EMBIRANYE MU DP: Emikono egiyita olukung’aana olukangavvula Mao giweze
Kitegerekese nga okukungaanya emikono okusobola okuyita olukiiko olufuzi olwa NEC mu kibiina kya DP bwekutandise. Abali mu nteekateeka eno batubuulidde nti bakakungaanya emikolo egiri eyo mu bikumi ebibiri. Bano baagala Pulezidenti wa DP Nobert Mao ne ssaabawandiisi w'ekibiina Gerald Siranda boogere gyebajja obuyinza obuyunga DP ku NRM.