Embeera ya Eddie Mutwe, aba NUP bali mu bweraliikirivu, bakolokose ab’ebyokwerinda
Embeera ya Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe yeeraliikirizza bannakibiina ki NUP era ng'okusinziira ku Munnamateeka Megellan Kazibwe eyamukiikiridde mu kkooti e Masaka gye yaggukddwako emisango eggulo, ssinga taweebwa bujjanjabi mangu obulamu bwe buli mu katyabaga. Kazibwe agamba nti Ssebuufu yamubuulidde ku bugubi bwayiseemu mu nnaku omusanvu z,amaze mu mikono gyabamuwamba. Waliwo n'abamu ku bakulembeze ba NUP abakyaliddeko Ssebuufu mu kkomera e Masaka, abagamba nti embeera ono mwali tesanyusa.