EMBEERA EKALUBYE NNYO: Ekitongole ekirabirira abaliko obulemu kyekubidde enduulu
Mu disitulikiti ye Nakaseke waliwo ekitongol ekirabirira abaana abaliko obulemu ekyekubidde enduulu olw'okulinnya kw’emiwendo gy’ebintu nga kigamba nti kitandise okukalubiziribwa okulabirira abaana 280 abaliko obulemu bekirina. Abakiddukanya bagamba nti embeera yali yayonooneka dda olw'abamu ku kubagabi b'obuyambi okubiggyamu enta olw'ekirwadde ki Covid-19