EKIRWADDE KYA MUKENENYA: Abakirina 1400 e Luwero tebamanyiddwako mayitire
Abantu abasoba mu lukumi mu bina (1400) abawangaala n’akawuka akaleeta mukenenya mu district y’e Luwero tebamanyiddwako mayitire eky’ongedde okutaataaganya kaweefube w’okulwanyisa akawuka kano. Okusinziira ku Dr. Wilson Mukasa akulira kaweefube w’okulwanyisa mukenenya mu Luweero, abantu abali eyo mu mitwalo ebiri mu kasanvu (2,7000) bebateeberezebwa okuba nga bawangaala ne mukeneya mu Luweero, kyoka nga emitwalo ebiri mu kakaaga (25.600) bokka beebali ku ddagala. Kati bano nga bali wamu n’ebitongole by’obwanakyeewa obwanga babuzizza mu bantu bennyini okukulemberamu kaweefube w’okulwanyisa mukenyenya nga basoose nabavuzi ba boda boda.