EKIFO KYA SIPIIKA: Lwaki ababaka ba NRM beesowoddeyo mu bungi?
Ekifo ky’obwa sipiika ky’ekimu kw’ebyo ebisinga amaanyi mu ggwanga era omuntu yenna aba akirimu aba akulira erimu ku masiga agakola gavumenti. Oluvannyuma lw’okufa kw’akibaddemu Jacob Oulanyah, ab’ekibiina kye ki NRM bakola butaweera okulaba nga bakyeddiza era nga abantu 13 omuli ne baminisita be beesowoddeyo okukivuganyaako. Abatunuulira eby’obufuzi balowooza nti omuwendo guno omunene gwa kugumaaza bannansi kubaggya ku mulamwa omukulu nti Pulezidenti Museveni y’asalawo ani abeera mu kifo ekyo.