EKIFO KY’OBWA SIPIIKA: 15 be beesowoddeyo, NRM erinako 13, kuliko ne baminisita
Ababaka ba Palamenti 13 nga bannakibiina ki NRM bebeyagaliza ekifo ky'obwa Sipiika wa Palamenti. Bangi kubano bagamba bazze kumaliriza buwereza bw’abadde Sipiika kati omugenzi Jacob Oulanya, omuli okuzzaawo ekitiibwa kya Palamenti, okuzaawo palamenti essa omulaka ku biruma abantu n'ebirala. Mubano mwemuli n'abadde amyuka Sipiika Anita Among ssaako ba Minisita bana. Amyuka sipiika wabula talabiseeko eri akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda nga asindise muyambi we.