Ekibba-ttaka e Mpigi, waliwo abamenye amayumba g’abatuuze
Abatuuze abawangaalira ku ttaka ly’ekika ky’olugave ku kyalo Mabuye mu ggombolola ye Kiringente mu disitulikiti ye Mpigi, beekubidde enduulu olwabantu abaagala okubagobaganya ku ttaka. Bano basabye ab’ekika ky’olugave babataase ku bantu be balumiriza nti babasuza ku tebuukye.Ab’ekika ky’olugave batubuulidde z’enkaayana ku ttaka lino bweziri mu kkooti era nga beewuunya lwaki ate waliwo abaagala okutabangula embeera mu kiseera kino nga kkooti tennavaayo na kyankomeredde ku bwannanyini.