EBYA MUTABANI WA KIBWETERE: Abatuuze b’e Ziroobwe bali mu kutya
Ebyazuuse ew’agambibwa okuba mutabani wa Joseph Kibwetere byeralikirizza abatuuze b’e Zirobwe mu Luwero. Juvenile Lugambwa ngalina amaka ku byalo bibiri okuli Kirambula ne Wabutungulu mu mu muluka gwe Kyetume yakwatibwa Poliisi gyebuvuddeko oluvanyuma lw’okusangibwa ngaliko entaana gyeyali asimye mweyali ayagala okuziika omwana nga mulamu. Herbert Kamoga asiibye mu kitundu kino ng’ali byabuliriza.