EBYA FIIZI TEBINNAGGWA: Waliwo bannakyewa abagenze mu kkooti
Waliwo abantu abagamba nti balwanirira bya njigiriza abeegasse ne ba looya ne bagenda mu kkooti enkulu e Kampala okugisaba eragire minisita w'eby’enjigiriza akozese obuyinza obumuweebwa mu tteeka ly'eby’enjigiriza alambike ebisale by'amasomero era awere ebyetaago by’amasomero oba requirements. Balina n'ebbago lye baagala ababaka batwale mu Palamenti omuli ibuwaayiro obugaana omuntu yenna okufuula eby’enjigiriza bizinensi. Ennaku zino okwemulugunya kungi ku bisale by’amasomero ebiri waggulu ekisusse n'ebyetaago by'amasomero abamu bye batuuse n’okugereesa nti mu bungi bibula kwenkana birabo bya mikolo