Eby’okuwamba Eddie Mutwe, Mao akolokose ab’ebyokwerinda, awadde kkooti amagezi
Minisita w'eby'amateeka n'obwenkanya Nobert Mao akolokose nnyo aby'ebyokwerinda okutandika okukitwala ng'ekyabulijjo okuwamba abantu ne babatulugunya oluvannyuma ne babasuulira kkooti ebawozese.Mao bino abisimbulizza ku ngeri Edward Ssebuufu eyeeyita Eddie Mutwe gye yayisiddwamu kyokka abaamuwamba nebaagala amateeka gamukoleko ate ng'omusango baagumusalira dda n'ekibonerezo ky'okumukuba n'awulubala nebakimuwa.Ono atubuulidde nti kkooti y'e Masaka yabadde esobola okugaana okubaako omusango gw'esomera Eddie Mutwe olw'embeera gye yagiddemu.