Eby’okulonda mu NUP, Harriet Chemutai y’alondeddwa okukulira eby’okulonda
Harriet Chemutai y'alondeddwa okukulira akakiiko k'ebyokulonda mu National Unity Platform mu nkyukakyuka ezikoleddwa olukiiko olufuzi olw’ekibiina kino . Ono azze mu bigere bya Mercy Walukamba era, nga waakumyukibwa Ivan Ssempijja, ng’ono yaliko omukulembeze w’abayizi ku Ssetendekero e Makerere.