EBY’OBULAMU BY’EGGWANGA: Gavumenti esabiddwa okwongeramu amaanyi
Gavumenti ekkubirizidwa okwongera okutumbula eby’obulamu bye gwanga okusobola okukendeeza ku muwendo gw’abantu abagenda emitaala w’amayanja okufuna obujjanjabi. Okusinzira ku basawo ne bana byabufuzi, abakulembeze okwongera okugenda ebweru okujjanjabibwa nga balwadde kiviiriddeko abantu ba buligyo okwongera okugya obwesige mu by’obulamu bye gwanga. Wadde ng’amateeka gakkiriza omuntu yenna okufuna obujjanjabi ebweru we gwanga, bano bagamba nti tekigyaawo nsonga nkulu nti eby’obulamu bye gwanga bikyaali yegeyege.