E Kasese basatu bafudde mu muliro ku kkolero lya seminti
E Kasese omuliro ogutannamanyika kweguvudde gukutte ekkolero lya seminti erya Hima era negwonoona ebintu bya bukadde. Poliisi etubuulidde nti abantu basatu be bafiiridde mu muliro guno so nga mukaaga basimattuse n'ebiwundu.