DEMOCRATIC REPUBLIC OF CONGO: Lwaki ebibinja bya bannalukalala
Obubinja bw'abayekeera obwekukumye munda mu ggwanga lya DRC kigambibwa nti busukka ne mu 20, wabula nga buli kamu kumpi kalina eggwanga ery'okumuliraano lyekajojobya. Kino kiri bw'ekiti lwa nsonga nti eby'okwerinda mu buvanjuba bwa DRC butono ddala. Ng'oggyeko eby'obugagga byebasima okufuna ensimbi eziyimirizawo obuyeekera bwabwe, abakugu bbo balowooza nti bingi ebiri e Congo ebyandisikirizza omujambula yenna okwettanirayo.