OLUTALO LWE SUDAN :Abaali mu masomero batabuddwa, tebamanyi kiddako
Mu mboozi zaffe ezikwata ku banoonyi b’obubudamu okuva mu Sudan abaddukira mu Uganda nga kaakano obulamu babutambuliza mu nkambi y’e Kiryandongo, leero tukuleetedde abavubuka abaali basoma mu Sudan nga beesunga kuba ba yinginiya, abasawo n’abantu ab’omugaso mu biseera eby’omu maaso.
Kyokka mu kiseera kino eby’okusoma kwabwe biri mu matigga olw’olutalo olwabalukawo era tebamanyi waakutandikira. Patrick Ssenyondo yatuuseeko mu nkambi y’e Kiryandongo n’ayogerako n’abamu ku bantu bano.