Bishop Robert Muhiirwa avuddeyo ku kyokuuma omutindo gwe mwanyi
Bishop we ssaza Lya Fort Portal Robert Muhiirwa avuddeyo ku kyokuuma omutindo gwe mwanyi mu ssaza ly'akulembera bwatongozza engenderwaako mu kwongera okukubiliza abantu okulima emwanyi mu bungi kko no'kukuuma omutindo gwaayo omulungi esobole okuvuganya ku katalele ke nsi yona abalimi basobole ikugifunamu okusinga nga ebweeru kati. Bino bibadde ku kyaalo Nkuruba mu district ya Kabarole webatadde enimiro yo kwaluza endokwa ezigenda okugabibwa mu buli kisomesa okumala emyaka etaano.