BBEEYI Y’EBINTU: Abaddukanya amasomero bali mu kusoberwa, babawadde amagezi
Abaddukanyaamasomero olusoma lwa taamu ey’okubiri basigadde balwasimula bugolo olw’okusomooza kwe basanze mu kulabirira abayizi wakati mu mbeera y'ebbeeyi y'ebintu eyeekanamye. Kati ng'abayizi bagenda mu luwumula, bangi emitima gyibeewanise nga bebuuza engeri gye bagenda okuddukanyamu amasomero gaabwe mu taamu ey'okusatu. Wabula abalondoola eby'enfuna mu gwanga bano baliko amagezi ge babawadde.