Bbaasi ya SC Villa egudde, abazannyi balumiziddwa
Abazannyi ba ttiimu ya SC Villa basimattuse akabenje baasi mwebabadde batambulira bweyabise omupiira olwo neyeevuunika ku kaalo Migyera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu nga bano babadde bagenda kuzannya mupiira gwa Uganda cup ne ttiimu ya Super Eagles. Abawerera ddala mukaaga babuuseewo n’ebisago nga kati waliwo okutya nti omu ku bamumyuka b’omutendesi Mubaraka Kiberu wamu n’omuzannyi Sadam Juma nti bano bayinza okuba nga bafunye ebiwundu munda yadde nga kino kibadde tekinakakasibwa basawo. Bbaasi ya Villa nga eno y’ettika abantu 34 babadde baakamala okugiddaabiriza oluvannyuma lw’okumala emyaka esatu nga eri mu galagi.