Bankubakyeyo abakyakonkomadde, gav’t ekomezzaawo abalala
Waliwo bankuba kyeyo abalala ababadde bakonkomalidde mu mawanga gabawarabu gavumenti yakuno ng'ekolaganira wamu ne gavumenti z'amawanga ago beebasobodde okukomyawo. Abamu ku bano batubuulidde nti embeera tebadde nnyangu era nga basanyufu okudda kuno yadde nga bakomyewo banjala ngalo. Tukitegedde nti bannayuganda bangi bakyakonkomalidde mu mawanga gano nga gavumenti ekola butaweera okulaba nti bazzibwa okwa boobwe.