Bamukoonedde ennyumba: E Bulenga nnamukadde asobeddwa, tamanyi wakusula
Wabaddewo akasatiiro kukyalo Nakabugo Bbira ekisangibwa mu mu District ye Wakiso, abantu abatanategerekeka bwebalumbye amaka ga Namukadde Jenni Namukwaya nebagakoona kumpi kugaleka ku taka. Namukadde Namukwaya aliko ba bulooka bettaka baalumiriza okuli n’eyali bba okubeera emabega wa bino okwagala okumubbako ettaka lye nti era baludde nga bamutiisatiisa. Poliisi yakakwata babiri ku nsonga eno.