BAJETI YA 2021/22: Abatunuulira ebyenfuna bagirinamu essuubi
Emisolo emiggya nga ogwa ogwebitundu 12% ku data , siringi 100 ekyongeddwa ku mafuta n’enyumba zobupangisa gitunuuliddwa nga emikakali eri munnayuganda asookerwako sso nga bangi tebanavvuunuka buyinike bwaleeteddwa kirwadde kya covid-19 ekyafukamizza ensi yonna. Abamu ku bakugu mu byenfuna by’eggwanga abakubye ttoochi mu mbalilira eno gye balowooza nti bannayuganda bakugiganyulwamu ssinga eteekebwa mu nkola nga bweyisiddwa kubanga mulimu ensimbi nyingi eziteekeddwa mu pulogulaamu ezenjawulo ku mitendera egyawansi.