Baamusse ne bamuziika:Waliwo omulambo gw’omusuubuzi oguzuuliddwa mu nnimiro
Poliisi e Mityana ekutte abantu babiri bagiyambeko mu kunoonyereza ku butemu obwakuleddwa ku musuubuzi abadde omutuuze ku kyalo Katebere, ng'ono asangiddwa nga yattibwa naziikibwa Eyattiddwa ye David Kasozi ng'ono abadde amaze ennaku nga tamanyiddwa mayitire okutuusa abatuuze lwe baasazeewo okusamba ensiko.