Avuganya Kadaga poliisi eyimirizza olukungaana lwe
Poliisi mu bitundu bye Mbulamuti mu disitulikiti ye Kamuli erinnye eggere mu lukungaana lwa Noet Nangobi lwabadde akubye mu katawuni k’e Mbulamuti okukunga abatuuze baayo okumuyira akalulu k’omubaka omukyala ow’e Kamuli ku kaadi ya NRM.Poliisi emutegezeza nga olukungana lwakubye bwelutabadde mu mateeka ngera ne kampeyini z’omulujjudde zibadde tezinagibwako kawuuwo.