AMAZAALIBWA GA KABAKA: Katikkiro akuutidde obuganda okussa essira ku Ssaabasajja bya bagamba
Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde obuganda okutambulira ku nsonga Ssaabasajja zalambika naddala eby'obulamu, ebyenjigiriza n'enkulakulana yabantu. Era asabye abantu okubeera abanyiikivu mu byonna byebakola okusobola okubiganyulwamu. Katikkiro abadde awa obubaka bw'amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi agemyaka 67 gyawezezza olwaleero.